NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’Obutonde bw’ensi Pulofesa Gilbert Bukenya, awuniikiridde bw’atuuse ku kyali ekibira ky’e Gunda mu tawuni Kanso y’e Katabi- Entebe nga kati kyererezi.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Sipiika wa Paalamenti Anita Among alagidde minisita w'ensonga z'obwa pulezidenti Milly Babalanda okuleeta ebiwandiiko ebikwata ku balondedwa okuba abamyuka baababaka ba pulezidenti mu disitulikiti ez’enjawulo.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Abantu abawangarira mu bituundu by’e Bujaga, Rwenshama, Kinoni nawalala mu Disitulikiti y’e Rwampara basabye Salam Charity okubayamba okutumbula enkulakulana mu bitundu byabwe.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

Maama wa Buganda Sylvia Nagginda ng’ayita mu kittavvu kye ekya Nnabagereka Fund atongonza enteekateeka y'okusasaanya obubaka obukwata ku ndwadde z'omutwe mu Buganda ne Uganda yonna ey'omwaka 2024.

Maama wa Buganda Sylvia Nagginda ng’ayita mu kittavvu kye ekya Nnabagereka Fund atongonza enteekateeka y'okusasaanya obubaka obukwata ku ndwadde z'omutwe mu Buganda ne Uganda yonna ey'omwaka 2024.

 #NBSAmasengejje #NBSUpdates
account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Sipiika wa Paalamenti Anita Among alagidde akakiiko akakola ku nsonga za Pulezidenti kanoonyereze ku bamyuka bababaka ba Pulezidenti, abaalondedwa n’ebisanyizo byebalina.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Sipiika wa Paalamenti Annet Anita Among awandiikidde akakiiko ka paalamenti akalondoola ensasaanya y’ensimbi n’akayimiriza okulambula eddwaliro ly’e Lubowa.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo wano mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics, kitegeezezza nga bwekimaze okwetegeka obulunji okukola omulimu gw’okubala bannayuganda n’ebyabwe.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

Munna NUP wabula nga emabega awo abadde munna DP lukulwe Jude Mbabali yakyali ono akakasa nti muwulize nnyo eri mukamaawe keyeyubudde byonna abitadde mulujudde.

Munna NUP wabula nga emabega awo abadde munna DP lukulwe Jude Mbabali yakyali #NBSKukatebe ono akakasa nti muwulize nnyo eri mukamaawe keyeyubudde byonna abitadde mulujudde.

 #NBSAmasengejje #NBSUpdates
account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

Abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu bakubye tooki ku byafulumiziddwa ekitongole kya America ekivunanyizibwa ku nsonga z'amawanga ag'ebweru nti buli olukya eddembe ly’obuntu n’enfuga ya demokulasiya byongera okusereba.

VIDEO: Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda ku ludda oluwabula gavumenti Betty Nambooze, asabye paalamenti esooke enoonyereze ku bunene bw’ettaka okutudde ekkomera lya gavumenti ery’e Luzira nga tenaba kuliwaayo eri musigansimbi ayagala okuzimbako woteeri.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

Poliisi esindiridde amasasi agattiddewo omuzigu alumbye amaka g’omutuuze omu mu bitundu by’e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo, n’atemaatema abaana bana n’abaleka nga bataawa.

Poliisi esindiridde amasasi agattiddewo omuzigu alumbye amaka g’omutuuze omu mu bitundu by’e Ndejje mu Makindye Ssaabagabo, n’atemaatema abaana bana n’abaleka nga bataawa.

#NBSAmasengejje #NBSUpdates
account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Dr. Fred Muhumuza omukugu mu byenfuna n’omubaka Muwanga Kivumbi basimbako amannyo nti ennyongereeza ezisabibwa ku nkomerero y'omwaka gwe byensimbi gaba malyansimbi era kizibu ekisaanidde okunogera eddagala.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Ssentebe w’akakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ensasaanya ya gavumenti, omubaka Muwanga Kivumbi, aweze nti tebagenda kupondooka ku nsonga z’eddwaliro ery’omulembe eririna okuzimbibwa e Lubowa.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

VIDEO: Bannamateeka bambalidde gavumenti olw’okwesuulirayo ogwannagamba mu kunoonyereza n’okukwata abazze batemula abanene mu bukambwe, so nga mu misango egimu baggyayo n’agomubuto.

account_circle
NBS Television(@nbstv) 's Twitter Profile Photo

Sipiika wa Paalamenti atabukidde ba Minisita abasusse okulengeza paalamenti nga bagijwetekako engambo ezitaliko mutwe namagulu.

Sipiika wa Paalamenti atabukidde ba Minisita abasusse okulengeza paalamenti nga bagijwetekako engambo ezitaliko mutwe namagulu.

 #NBSAmasengejje #NBSUpdates
account_circle